Ebyobusuubuzi

Baasi ssizakuggya

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

  KKampuni ekola ku byentambula eya awakula enume, etegeezeza nga bw’etagenda kuleeta baasi ndala nga bweyali esuubiza mu mwezi guno. Kino kivudde ku ntalo mu mawanga agali mu kyondo kya buwarabu Amyuka omwogezi wa kkampuni eno,Tebaijuka agamba nti baalina enteekateeka z’okuleeta bus endala buli mwezi […]

Akukusa ebyenyanja mu mpale

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

  Omusajja abadde akukusa ebyenyanja mu mpale akwatiddwa nga yenna atobye. Bino bibadde mu new Zealand Omusajja ono enzaalwa ye Vietnam abadde adda mu ggwanga to Australia . Omusajja ono abadde n’obwenyannmja musanvu mu mpale kyokka nga’soose kubusiba mu buveera omubadde amazzi Obuzibu bwonna buvudde […]

KKapa bagikoze masaagi

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Abantu bangi bagaala nnyo ebisolo byaabwe era nga basobola okukola buli kimu okubisanyusa Mu ggwanga lya Thailand, omusajja ayagala ennyo kkapa ye asazeewo kugikola masaagi Kkapa en0 ekwatiddwa ku lutambi nga yonna olaba nti enyumirwa okufa ko obufi . Nyini kkapa enoabadde ajinyiga n’okugiweweeta ku […]

Abalwadde bakaaba-Sikaani nfu

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Abalwadde mu ddwaliro e kkulu e Mulago bakaaba lwa kyuuma kya Scan ekyaafa Ekyuuma kino okukikozesa e Mulago abantu basasula emitwalo 12 kyokka nga mu malwaliro amalala bawa emitwalo 25 Omu ku bakoseddwa ye Ronald Nsamba asangiddwa ku kitanda nga kuno nno amazeeko ennaku ttaano […]

Ebbeeyi y’emmere erinnye

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Ebbeeyi y’emmere ezzeemu okulinnya Ebbeeyi yy’ebintu elinnye okuva ku bitundu 3 ku kikumi okudda ku bitundu 5 Kino kigambibwa okuba nga kivudde ku musana. Omukugu ku kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu, Vincent Nsubuga gaamba nti enkuba ebadde yabbula ng’ate awamu yaleeta buleesi bizibu mu kifo […]

Mu paakayaadi beekalakaasizza

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Poliisi eyitiddwa bukubirire okukkakkanya abasuubuzi ababadde beekalakaasa. Obuzibu buvudde ku kwongeza ssente zebawa buli mwezi okuva ku mutwalo gumu kitundu okudda ku mitwalo ebiri kitundu Abasuubuzi bano babadde batandise okwegugunga nga bagamba nti sente zino nyingi. Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi mu […]

Okutambula kukyuusa omubiri

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Bannasiyansi bazudde lwaki omuntu alwaawo okumanyiira ekifo ky’atabeeramu buli lunaku Abanonyereza okuva mu university ya Oxford bagamba nti kino kiva ku mbeera omuntu gy’ayitamu ng’atambula naddala bw’aba atambulidde mu nyonyi. Bano abagamba nti byebazudde byakubayamba ookukola eddagala omuntu ly’ayinza okumira ng’ali mu nyonyi oba ng’agivuddeko […]

Ebibala bikola ku sukaali

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Okulya ebibala nga apple n’entuntunu enzungu ziyite grapes kiyamba okukendeeza emikisa gy’omuntu okufuna obulwadde bwa sukaali. Ate bwo obubala obumanyiddwa nga blue berries bukendeeza obulabe okutuuka ku bitundu 26 ku kikumi okwawukanako n’ebibala ebirala. Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu abasoba mu mitwalo 18 mu ggwanga […]

Abaana abazaalibwa nga balina mukenenya bakendedde

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

  Omuwendo gw’abaana abazaalwa nga balina akawuka ka mukenenya bakendedde Ab’eddwaliro erijanjaba n’okubudabuuda abalina mukenenya ekya Mildmay bagamba nti buli mwezi abaana abazaalwa nga balina kawuka bali 14 bokka okwawukanako n’emabega bwebaali nga 40. Akulira eddwaliro lino,Dr.Babara Mukasa kino akitadde ku nkola eziyiza ba maama […]

Okuwandiisa abafa n’abazaalibwa

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Ekitongole ekikola ku kuwandiisa abantu abazaalibwa n’abafa kisabye gavumenti kuvaayo n’enkola enayamba okulaba nti abantu bonna bawandiisibwa Ekitongole kino kigamba nti yadde tteeka nti abantu bonna abazaalibwa n’abafa bawandiisibwa, tekikoleddwa bulungi kubanga tewali nkola nnungamu ekirambika. Okusinziira ku alipoota eyakolebwa mu mwak agwa 2011,ku baana […]