Olwali

Alangidde mukama we

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Buli muntu aliko engeri gy’ava ku mulimu gwe ng’agukooye. Omuwala ow’emyaka 25 Marina Shifrin, abadde akooye mukama we okumutuntuza nga ky’akoze kwekuyiiya akayimba ng’ono akunganyizza bakozi banne ne mukama we ng’abasuubiza okubaleeterayo akapya. Atandise kuyimba akayimba kano wakati mu kuttottola nga bw’abadde akooye mukama we […]

Omubaka Gregory Matovu aziikibwa lwa kuna

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Omulambo gw’omubaka abadde akiikirira abe Bukanga mu Lukiiko olukulu ow’eggwanga olunaku lwenkya lwegugenda okutwalibwa mu palamenti Gregory Matovu afudde oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa kokoolo w’emimiro Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, omugenzi agenda kusabirwa enkya ku eklezia katolika eya Yesu ye Kabaka nga tannatwalibwa ku palamenti ababaka […]

Omukuumi asse mukama we

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Poliisi ebaze ku muyiggo gw’omukuumi agambibwa okutta mukama we omuyindi mu bitundu bye Bunga Najib Bruhan akolera kkampuni ya Delta yakubye mukama we Harris Sharma amasasi agaamusse ng’amubanja Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bakyakolagana ne kkampuni emukozesa okulaba engeri gyebamukwatamu avunaanibwe

Abalongo ba nabansasana e Mbarara

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Waliwo abalongo ba nabansansana abazaaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara. Abalongo bano balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu. Maama waabwe Anabella Kansiime balongosezza mulongoose mu kubazaala. Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti bagenda kukyuusa abaana bano babatwale […]

KCCA yegaanye okugaana abasiraamu okwaziina

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya Kampala capital city authority kyeganye ebigambibwa nti kyaweze okwaziina ku mizikiti gy’abasiraamu. Kino kiddiridde abakulembeze babayisiramu okuvumirira kino Kigambibwa nti mu bbaluwa gyeyawandiika nga 17th September, akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi yawandikira Mufti  Sheikh Shaban Mubajje, ng’amuyita mu lukungaana olwaali […]

Endwadde ezitafibwaako

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu kyakutongoza enteekateeka enakendeeza ku  ndwadde ezitatera kufiibwaako. Enteekateeka eno eganda okumala emyaka 5 yakuwemmenta obukadde bwa doola 55. Akulira ekibiina ky’obyobulamu, Dr. Wondimagegnehu Alemu agamba nti kikakakata ku buli gavumenti okussa ensimbi mu ndwadde zonna okukendeeza ku muwendo gw’abafa. […]

Ennaku z’obulamu

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Disitulikiti ezisoba mu 10 zeezigenda okufuna mu nnaku z’ebyobulamu z’amaka ezitegekeddwa ab’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu ekya Uganda Muslim supreme council. Omwogezi w’ekitebe kino, Alhajji Nsereko Mutumba, agamba nti abantu bangi abalwaala endwadde ezisobola okuziyizibwa nga beebagenda okussaako essira ku ku lw’okutaano lwa ssabiiti ejja Mutumba agamba […]

Ba maama abato beebaviirako abaana baabwe okufa

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Abaana abazaalwa abakyala abali wansi w’emyaka 30 batera okufa okwawukanako n’abo abazaaliddwa bannaabwe abakulu Okunonyereza kuno kukoleddwa okumala emyaka 20 nga kizuuliddwa nti abakyala ababeera abato baba babulabe eri abaana baabwe Abanoonyerezza bano bagamba nti ba maama abato beetaga nnyo okuyamba okumanya abaana baabwe nebasobola […]

Omubaka we Bukanga, Gregory Matovu afudde

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Omubaka akiikirira abantu be Bukanga mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Gregory Matovu afudde Ono afudde nkya ya leero mu ddwaliro lya Nakasero Hospital. Ono kigambibwa okuba ng’afudde kokoolo w’emimiri aludde ng’amuluma. Omwogezi wa palamenti, omukyala Hellen Kaweesa agamba nti kyannaku nti bafiriddwa omubaka omulala nga bakyaakungubagira […]

Eggulu lisse abantu 2

Ali Mivule

September 26th, 2013

No comments

  Eggulu lisse abantu babiri e Kisoro. Abana bali bubi ate abalala mukaaga bali ku bitanda Omwogezi w’ekitongole ekiddukirize ekya RedCross akakasizza amawulire gano