Amawulire

Ababaka baanirizza eby’okuteesa

Ali Mivule

November 29th, 2013

No comments

Abamu ku babaka ba parliament basanyukidde ekiteeso ky’omukulembeze w’eggwanga okuteesa ne bannabyabufuzi abavuganya gavumenti  mu kibuga Kampala. President Museveni, bweyabadde ayogerako n’abatuuze mu district ye Lwengo, yagambye nti mwegetefu okuteesa ne Lukwago ne banne okuleetawo emirembe mu kibuga. Ababaka okuli Julius Junjura,Patrick Nsanja ne David  […]

Mudde ku Mirimu- Gavumenti eragidde aba KCCA

Ali Mivule

November 29th, 2013

No comments

Minister wa Kampala Frank Tumwebaze alagidde ekitongole kya Kcca okuddamu okukakkalabya emirimu gyaakyo. Kino kiddiridde akulira abakozi mu  KCCA Jennifer Musisi okuyimiriza emirimu gy’ekitongole, ng’agamba nti abakozi ba KCCA babadde batulugunyizibwa abawagizi ba Lukwago. Frank Tumwebaze agambye nti bamaze okufuna obukuumi obumala eri abakozi ba KCCA. […]

KCCA eggaddewo

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

Kampala capital city authority egaddewo. Abakozi bonna ssibakuddamu kukola mirimu okuva olunaku lw’enkya Kino akyogedde y’akulira abakozi mu Kampala Jennifer Musisi. Ono agamba nti abakozi baabwe batiisibwatiisibwa nga bakola at enga tebasobola kubawa bukuumi. Ng’ayogerako eri bannamawulire akawungeezi ka leero, Musisi agambye nti bakusigala nga […]

Abapoliisi bagobeddwa lwakutulugunya bantu

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

Abapoliisi abaatulugunya eyali omukozi wa Mukwano gubasse mu vvi Akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa nga kakulemberwa Joseph Ongom kategeezezza nti ebikolwa bya ba poliisi bano bimenya mateeka era bibavumaganya. Aboogerwaako kuliko ASP Asbos Okumu, Corporal Odongo, Patrick Muwonge ne Lwanga Arafati. Bano batulugunya Kasimu Suuna […]

Gavumenti yakujulira

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

Gavumenti etegeezezza nga bw’egenda okujulira ebivudde mu kooti nga bikakasa Erias Lukwago nga loodimeeya. Kooti enkulu olunaku lwaleero ekirizza okuyimiriza eby’okussa mu nkola ebiri mu alipoota eyagoba Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe mu bulambalamba. WAbula ekiwandiiko ekivudde ku kitebe kya gavumenti ekya mauwlire ekya Media center […]

Lukwago aluyiseeko- Olutalo lutandika butandisi

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago aweze nti olutalo olw’okulwanirira entebe ye ey’obwa loodi Meeya lutandika butandisi. Kino kiddiridde kooti enkulu  okuyisa ekiragiro ekiyimiriza okussa mu nkola ebyasalibwaawo akakiiko akaali kanonyereza ku loodimeeya. Omulamuzi Yasin Nyanzi era alagidde gavumenti esasule Lukwago ssente ze zonna z’asasanyizza mu […]

Eddwaliro tekuli kasolya

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

Embuyaga ekedde okukunta etikudde akasolya k’eddwaliro lya lya Health Centre iv nereka akasenge omuli abakyala b’embuto abasoba mu 40 nga bali mu kyangaala. Eddwaliro erikoseddwa lisangibwa Ntoroko mu bugwanjuba bw’eggwanga.  Abakyala bano beegamye ku mbalaza nga ab’ekitongole ky’omusalaba omumyuufu okuva e Bundibugyo bayitiddwa dda okutaasa […]

Akabenje ku Kisaawe mu Brazil

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akabadde ku kisaawe e Brazil. Ekisaawe kino kimanyiddwa nga Sao Paulo nga kino kyekigenda okubaamu omupiira ogunaggulawo empaka z’ekikopo ky’ensi yonna Omu ku baddukirize abayitiddwa okutaasa abantu agambye nti ekisaawe kino ekiri mu kuzimbibwa okutuukagana n’omutindo wa FIFA kiyiseemu nekibikka […]

Omutamiivu akubidde poliisi essimu

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Omusajja anywedde n’agangayira akubidde poliisi essimu lwa mukazi kumufulutiira mu matu Ono yagenze mu bbaala okunywaamu, gyeyasanze ekijujuulu era n’alonda ekkubo ng’enjogera y’ennaku zino bweri. Bagenze bombi ewaka kyokka ekiro yabuliddwa ekiro olw’omuwala okufuluuta ng’omuwendule era asazeewo okukubira poliisi essimu. Ono asoose kwegaana kumanya muwala […]

Omusoto mu bijanjaalo

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Omukyala aguze ebijanjalo ebibisi kimuweddeko bw’asazeemu omutwe gw’omusota ogufudde Omukyala ono bweyaguze ebijanjaalo yabituusiriza mu firiigi kyokka nga atuuse akaseera k’okufumba kwekubiyiwa mu kibakuli Ono asoose kulowooza nti kijanjaalo kyekyakula kyokka ng’okukyetegereza agenze okukakasa nti mutwe gwa musota kubanga gubaddeko enswiiriri n’amaaso kko n’omumwa. Omukyala […]