Ebyobusuubuzi

Ebbeeyi y’ebintu ekyaali waggulu

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Yadde ng’embeera mu budde ekyuuseemu, yyo ebbeeyi y’ebintu esigadde ng’eri waggulu. Emiwendo gikyaali ku bitundu 12 n’obutundu 7 ku buli kikumi okwawukanako n’ebitundu 11 mu mwezi gw’okubiri. Omukungu mu kitongole kino Chris Mukiza agamba nti emiwendo gino gakusigala nga giri waggulu kubanga n’enkuba gy’eyise erese […]

Agangayidde azuukuse talina kugulu

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Omugenzi Paul Kafeero yayimba nti eyayiiya omwenge asobola. Mu ggwanga lya japan omusajja anywedde omwenge nagangayira nagwa mu luguudo lw’egaali y’omukka agenze okudda engulu nga okugula talina. Ono akubye emiranga egisombodde abantu naye nga yenenya yekka

Abakyala beekalakaasizza e Mulago

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala amakya ga leero bakedde kwekalakaasa mu mirembe olw’ebbula ly’amazzi ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Bano bakutte ebidomola by’amazzi ebikalu nga kati baagala gavumenti eyambe ku bbula lyamazzi lino eriyingidde wiiki ey’okusatu. Omu ku bakulembeddemu okwekalakaasa kuno  Miria  Matembe agamba baagala kulaba nga […]

Emisango gya Lukwago gyonna giyimiriziddwa

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Ensonga za loodimeeya Erias Lukwago zikyalimu kigoye wezinge. Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi kati alagidde nti emisango gyonna egigenda mu maaso mu kkooti enkulu giyimirizibwe okutuuka nga kkooti ejulirwaamu ewulidde okujulira kwa ssabawolereza wa gavumenti. Ekiragiro lino kikozesezza emisango ebiri nga mu gusooka, loodimeeya […]

AKabwa akalema kakyekoze

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Embwa erina amagulu abiri ekubye obulatti nga bagitutte out muli omu nekimuggwaako. Embwa eno erabiddwaalp ng’ecacanca nga bweyekuba mu musenyu gw’olubalama lw’enyanja Embwa eyogerwaako atambulira mu kagaali oluvanyuma lw’okugitema amagulu g’emabega ng’ekyaali nto.

Ekyukakyuuka mu mbeera y’obudde yakwongera okuluma

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte eraga nti enkyuukakyuuka mu mbeera y’obudde eyolese okuvaako amataba agajja okwera buli kamu. Kuno kw’ossa n’okukyuusa mu birimibwa ng’ebimu akadde kagenda kutuuka nga tebikyadda. Mu ngeri yeemu n’amazzi amayonjo gajja kufuuka ga bbula Bannasayansi abasisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku alipoota eno […]

Kato Kajubi ayimbulwe-Bannamateeka

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Bannamateeka b’omusuubuzi Kato kajubi basabye kkooti eyimbule omuntu waabwe Bano nga bakulembeddwaamu Anthony Wameri bategeezezza nti omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka yalemererwa okukwataganya obujulizi obwaleetebwa omusawo w’ekinnansi Umar Kateregga ne mukyala we Mariam Nabukeera ku Kajubi Kajubi awakanya ekibonerezo ekyamuweebwa n’eky’okusingisibwa omusango. Yasibwa mayisa […]

Enkayaana mu NRM ssizakusaaga

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Entalo mu kibiina kya NRM tezisaanye kutwaalibwa nga kyakusaaga Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba nti ebigenda mu maaso kyakuyiga eri abali munda mu kibiina. Kiddiridde muka ssabaminista Amama Mbabazi okuvumirira ekya poliisi okwezza ensonga zonna nga buli kimu ekikwasisa amaanyi Jacqueilne […]

Eyakubye amasasi mu bantu mukwate

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Poliisi e Gaba ekutte omupoliisi eyakubye amasasi mu bantu n’alumya babiri. Moses balabye yabadde atawuuluza abatunzi b’omusenyu bibiri ababadde balwana era mu kukuba mu bbanga byamuwabyeeko n’akuba omuntu essasi. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Idi Bin Ssenkumbi agamba nti eyakubiddwa amasasi ali mu Mulago […]

Museveni teyejjusa ku bisiyaga

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni agamba nti teyejjusa kussa mikono ku tteeka eriwera ebisiyaga Ng’ayogerera mu kusaba okubadde e kololo, president agambye nti okulya ebisiyaga kikolwa kya kwewussa Pulezidenti era asabye bannaddiini okukulemberamu olutalo ku bisiyaga kko n’embeera z’abantu Okusaba kuno kwategekeddwa bannaddiini n’ebibiina by’obwannakyeewa okusiima pulezidenti okussa […]