Olwali

Anywegedde embizzi

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Omusomesa mu ggwnga lya China eyetemye okunywegeera embizzi ssinga abayizi bakoma okumansa kasasiro bimukalidde ku matama Hon Yaoming abayizi bakimukoze bwebekozeemu omulimu nebakoma okumansa kasasiro  Ono nno nga buli kimu kitegeke abadde takyalina kyakukola era bwatyo mu kwegumya n’anywegeera embizzi.

Basatu babbidde

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Abantu basatu okuva mu maka gamu babbidde. Bano babadde basabaalira ku lyaato ku Nyanja Kijanabaloora mu disitulikiti ye Rakai. Eryaato lino libadde ligenda ku kyaalo Bulyaana Abagenzi bategerekese nga Lawrence Ssango abadde akuba enkasi, , Florence Nanyanga ne Rachael Nantongo, nga bonna baana ba Frank […]

Micho alonze tiimu

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Micho ayise abazanyi 35 abagenda okuyingira enkambi nga 7th omwezi ogujja e’Namboole bwabadde mulukiiko lwabamawulire enkya ya leero e Mengo. Abamu kubayitidwa kuliko Dennis Onyango,Robert Odongkara,Henry Kalungi,Ochaya Joseph,Tonny Mawejje,Hassan Waswa,Martin Mutumba,Geofrey Masa,Ivan Bukenya,captain Andy Mwesigwa nabalala. Uganda egenda kusamba […]

Ebbeeyi y’ebintu esse naye ssi kubuli kimu

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Yadde ng’ebbeeyi y’ebintu ebisinga esse mu mwezi guno, ebbeeyi y’ebintu ebimu yyo ekyalemedde waggulu Wabaddewo okukka mu miwendo gy’ebintu okuva ku bitundu 7 .1% okudda ku butundu 6.7 ku kikumi Omukungu mu kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu, Chris Mukiza agamba nti ebimu ku bisse ebbeeyi […]

Ekikwekweto ku ba boda abatikka ababiri kyakuddamu

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

  Poliisi yakuddamu buto okukwata abagoba ba bodaboda abatikka omuntu asukka mu omu Omwaka guno ebikwekweto ebiyoola abo bonna abatuula ku piki ababiri byatandika era nga bino byatwaliramu n’abasabaaze Kaweesi agambye nti ekikwekweto kyebaakola kirabika tekyavaamu bibala ng’aba boda bakyatikka akabindo Ono agamba nti agenda […]

Pulezidenti Museveni akunze ku Luweero

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Pulezidenti museveni asabye bannakibiina kya NRM okwegatta ekifo kye Luweero bwekiba nga kyakusigala nga kyaabwe Kiddiridde bannakibiina kya NRM abalala basatu okuwera nga bwebagenda okwesimbawo ku lwaabwe nga bawakanya eky’okuyisaamu Rebecca Nalwanga nga tavuganyiziddwa. Ono agamba nti okutwaala ekibiina mu maaso kyetaaga kwerekereza abalala okusimba […]

Abakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi bavunaaniddwa

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Abantu 15 abaakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi basimbiddwa mu kkooti Bano bagguddwaako misango gyakukolagana n’abatembeeyi mu kulemezaawo ensuubula emenya amateeka Bano beebasoose okuvunaanibwa wansi w’etteeka lya KCCA eppya erigendereddwaamu okukoma abantu okutundira ku makubo Abavunaaniddwa babadde basajja na bakyala abasuuze mu kkomera ekiro kyonna. Bano […]

Tewali ddagala lya balwadde ba mitwe

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

  Wabaluseewo ebbula ly’eddagala mu ddwaliro elijjanjana ab’emitwe ku ddwaliro ekkulu eggulu Eddwaliro lino likola ku batabuse emitw en’abalina ensimbi naye nga ati babagoba kubanga tebalina kyakubakolera Akulira eddwaliro lino, Canaana Kateregegga agamba nti obuzibu buno bukulunguludde emyezi 2.

Abasajja babba eddagala lya bakyala baabwe

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Omuze gw’abasajja abalina obulwadde bwa mukenenya okubab eddagala lya bakyala baabwe gutandise okweralikiriza ab’ebyobulamu Abasaow ku ddwaliro kya Bardege health center three bagamba nti abasajja bangi bakoma kwekebeza olwo nebatandika kugabana eddagala ne bakyaala baabwe ate ng’abamu babba ekitereke kyokka Omu ku babangula abantu ku […]

Amafuta ssigakakaati

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Bannayuganda ababadde basubira okulaba ku mafuta agasimwa mu ggwanga bakugira nga bagumikiriza kubanga ettondo ly’amafuta erinasooka okukozesebwa lisubirwa mu 2019. Amakampuni amasimi g’amafuta 3 okuli  CNOOC, total E&P ne Tullow gategezezza nga okusima amafuta gano bwekwetaga okwongerwamu obuwumbi bwa doola nga 12 mu myaka 5 […]