Olwali

Embwa eyigirizza bbebi okwavuula

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Embwa kyekimu ku bisolo ebigezi ennyo era ebifaayo ennyo Ku mukutu gwa Youtube, ekifananyi ky’embwa eyigiriza omwana okwavuula bangi kibalese bakuamukiridde Embwa eno obwedda yekuluula nga n’omwana bw’agoberera Mu lutambi, omwana asooka n’atunula nga tabitegeera era nga yetegereza embwa kyokka oluvanyuma lw’akabanga omwana ono atandika […]

ayambadde empale nga tagikutteeko

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Olutambi lw’omusajja abadde ayambala empale nga tagikutteeko lufuuse ekyelolerwa Omusajja ono enzaalwa ye China yefunya mpola okuyingiza empale mu magulu era ng’agituusa bulungi mu kiwato nga tagikutteeko Omusajja ono takomye awo n’asiba n’omusipi

Robben aluyiseeko

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Ayen Robben aluyiseeko oluvanyuma lw’ekibiina kya FIFA okutegeeza nti ssiwakubonerezebwa ku by’okwesuula nga teri amukonyeeko Ono yagwa wansi ekyavaako okubawa peneti okukkakkana nga Netherlands ewangudde ne goolo 2 nga Mexico erina emu. Robben ow’emyaka 30 agamba nti teyabbye kyokka nga yetonda olw’okwesuula Omutendesi wa Mexico […]

Enkwanso z’abasajja tezirina njawulo

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Abakyala tebasaanye kweralikirira kuzaala mu basajja bakuliridde  kubanga enkwanso zaabwe tezawukana ku bato Mu ggwanga lya Bungereza, abasajja abakuliridde beebasinga okugaba enkwaso eri abakyala abazaala mu ngeri y’ekubakubamu enkwaso kubanga nga bangi babadde bagaana enkwaso zino nga bagamba nti za basajja bakadde Abakugu ababadde bakola […]

Omuti ogwatta omuntu gubatutte mu kkooti

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso bakubiddwa mu mbuga za mateeka Obuzibu bwonna buvudde ku muti ogwakuba omusajja eyali atambula agage n’afiirawo. Abe Wakiso babawaabye n’ab’ekitongole ekikola ku by’emiti Abawaabye beebamaka g’omugenzi Emmanuel Matovu abagaala obukadde 225 ng’ensimbi zebaakozesa okujjanjaba omuntu waabwe n’okumuziika kko n’obulumi bwebayitamu. […]

Bamusobezzaako kirindi n’afa

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Poliisi eri ku muyiggo gw’abasajja kkumi abakkidde omukyala nebamusobyaako ekirindi okutuuka lw’afudde. Abasajja bano omukyala ono baamuwambye ne mukulu we ategerekese nga Jessica Ganyana nebabatwaala mu ssabo olwo nebabakolako ebivve. Bino bibadde ku lusozi lwe Kabulengwa e Nansana mu disitulikiti ye Wakiso. Abawala bano ng’omugenzi […]

Abe Makerere bazzeemu- babanja nsako

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Abakozi mu ttendekero lye Makerere bazzeemu okutabuka ku nsako yaabwe Abatwaala ettendekero lino babawadde ennaku ssatu nga babasasudde omwezi gw’okutaano n’omukaaga Bano bamaze okukuutira ab’ettendekero omukuku gw’ebbaluwa nga bagamba nti tebatawaana okuggulawo olusoma olujja nga tebannaba kubasasula nsimbi zebabanja eziweza obuwumbi 4. Omwaka oguwedde ab’ettendekero […]

Eby’okwerinda ku mizikiti

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Poliisi yakwongera obukuumi ku mizikiti okulaba nti tegirumbibwa mu biseera by’ekisiibo Akulira ebikwekweto amaze okulagirwa okulaba nti buli muzikiti gukebera abantu era nga n’ebifo byebakungaaniramu okusiibulukuka okukuumibwa. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ne poliisi ekola ku nsonga z’obutujju eyiiriddwa ku mizikiti gyonna okwewala […]

Abalumbye Kyegegwa bandiba aba ADF

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye  kyegegwa ekwataganye n’amaggye okwongera okunonyereza ku bigambibwa nti abantu abaakoze obulumbaganyi mu kitundu kino bandiba nga balina akakwate ku bayeekera ba ADF. Wiiki ewedde ekibinja ky’abavubuka nga bambalidde agajambiya n’emmundu baalumbye e kkanisa y’abalokole eya Mungumwema nebatta abantu 2 okwabadde n’omusirikale […]

Ekisiibo ky’abasiraamu kitandika ku Ssande

Ali Mivule

June 27th, 2014

No comments

  Kimaze okukakasibwa nti ekisiibo ky’abasiraamu kitandika ku lunaku lwa ssande. Kiddiridde omwezi obutalabikako nga bwekibadde kisuubirwa nga kati teri kubuusabuusa kitandika ku lwa Ssande kubanga lwelunaku olusembayo mu mwezi gwa Shabaan. Akakiiko ka Saudi Arabia akalondoola omwezi keekalangiridde nti ekisiibo kyakutandika ku ssande. Abasiraamu […]