Amawulire

Dr Rugunda akakasiddwa- Mbabaiz amuwaanye

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Palamenti emaze okuyisaamu Dr Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omuggya Ababaka awatali kwetemamu bibiina abawerea ddala 217 beebawagidde Rugunda abeere ssabaminisita ku babaka 225 Sipiika Rebecca Kadaga ayisizaamu Rugunda yadde nga waliwo ekibinja ekibadde kiwakanya eky’omukulu ono okufuuka ssabaminisita nga bamulumiriza okwezibika ensimbi z’olukiiko olugatta bannakyeewa […]

Omwana atalina maaso, nyindo wakulongoosebwa

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Omulenzi eyazaalibwa nga talina maaso , nyindo oba mimwa wakulongoosa feesi ye eterezebwe Yahya Zohra yazaalibwa bw’ati olw’amagumba agaana okwekola ng’ali mu lubuto Bazadde b’omwana ono abava mu ggwanga lya Morocco balemererwa okufuna omukugu mu ggwanga lyaabwe nga kati baamututte mu ggwanga lya Australia okukolebwaako

Ebbeeyi y’ebintu esse

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Emiwendo gy’ebintu gyongedde okukka mu mwezi oguwedde Kino kibaddewo yadde nga gavumenti yaleetawo emisolo ebipya naddala nga ku mafuta Omukulu mu kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu Sam Kaisiromwe agamba nti yadde basanze obuzibu obutali bumu, basanyufu nti basobodde okulemesa emiwendo gino okupaaluka Vincent Nsubuga okuva […]

Akabenje e South Sudan- Emirambo gidda nkya

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Aba kkampuni y’abaasi eya Bakulu bakkirizza okuzza emirambo gy’abo abatokomokedde mu kabenje akaagudde mu ggwanga lya South Sudan Akabenje kano akagudde ku kyaalo Nesiti kaatuze abantu 35 ate nga bangi bakyanyiga biwundu Addukanya awatuukira abasaabaze mu kkampuni eno, Ali Andama ategeezezza nti bamaze okuwereeza emmotoka […]

Poliisi etabukidde aba TAPSCOM

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Poliisi erangiridde nti akakiiko ka TAPSCOM nga kano keekaddukanya omulimu gwa Taxi ku lwa KCCA kaliwo mu bukyaamu Kiddiridde okusisinkana abagoba ba taxi ababadde beemulugunAbagoba ba taxi balumbye poliisi ya CPS nga bemulugunya ku kakiiko kya TAPSCOM akulira aba Taxi Mustapha Mayambala ategeezezza nti batuntuzibwa […]

Ab’eggaali y’omukka basasulwe- palamenti

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Akakiiko ka palamenti akakola ku by’obuzimbi kagaala gavumenti eyirire abasuubuzi abasengula okuva ku luguudo lw’eggaali y’omukka mu ndeeba. Abasuubuzi abasoba mu 300 beebafumuulwa okuzimba oluguudo lw’eggaali olw’omulembe Akulira akakiiko kano Ephraim Biraaro agamba nti kyaali kikyaamu KCCA okusengula abantu bano nga ne palamenti temanyi Bbo […]

NRM enywezezza natti- abesimbawo bakusasula

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

  Ababaka ba palamenti okuva mu NRM bagaala enkyukakyuka mu mateeka agabafuga. Kati okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tiketi y’ekibiina olina okusasula obukadde 20 mu ggwanika ly’ekibiina. Bino by’ebimu ebyatuukiddwako ab’akabondo ka NRM akawungezi akayise. Kati agenda okwesimbawo ku bwa memba wa palamenti olina kusasula obukadde […]

Omwana akuze mu bu sekonda

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Liberia waliwo omwana ow’emyezi ebiri akuze okufuuka omusajja mu busekonda Maama w’omwana ono agambye nti yabadde aweese omwana we nga bagenda okulima n’ayogerera mu mugongo nti amuse wansi Omukyala ono agamba nti olwassizza omwana bwati mu kutya nga takakasa nti y’ayogedde, yagenze […]

Tetunonyereza ku Mbabazi- Kaihura

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti enonyereza kw’abadde ssabaminisita Amama Mbabazi3 Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi ebadde enonyereza ku bigambibwa nti abavubuka ba NRM abeekalakaasa bawagirwa Mbabazi ono Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti poliisi terina nsonga lwaki enonyereza ku Mbabazi kubanga teri yamuwaabye Kaihura wabula […]

Abafiiridde mu kabenje batuuse ku 35

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abatugiddwa akabenje akagudde okumpi n’ekibuga Juba gutuuse ku 35 Okusinziira ku ssentebe wa bannayuganda ababeera mu South Sudan, Nsubuga Mubiru , abasinga ku bano bafiiridde mu ddwaliro lye Juba olw’ebbula ly’omusaayi. Abakoseddwa abalala abasoba mu 40 bakyajjanjabibwa Mu bakoseddwa akabenje kano kubaddeko bannayuganda, bannakenya […]