Olwali

Kimuweddeko

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Mu ggwanga lya China omukyala ayagadde okukakasa oba bba tamulekeewo nga bakaddiye amalidde mu maziga Omukyala ono abadde agenda okugattibwa ne bba asazeewo bamusseeko make up amufuula omukadde era nebakimukolera Omugole omusajja olumukubyeeko eriiso n’ava mu mbeera n’atandika okuyomba era nga yyo embaga wetwogerera esaziddwaamu

Diego Costa akomawo mu kisaawe enkya

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Muyizi tasubwa wa Chelsea Diego Costa akomawo enkya mu kisaawe mu mupiira wakati wa Chelsea ne QPR olunaku lw’enkya Bino byogedde maneja wa Chelsea Jose Mourinho. Diego eyakateeba goolo mwenda mu mpaka za puliya liigi musanvu asubiddwa emipiira ena oluvanyuma lw’okufuna omuvune ku mukono. Okubulawo […]

Omukulembeze wa Burkina Faso avuunikiddwa

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso Blaise Compaore avuunikiddwa. Ono avuunikiddwa abantu abatandise okwekalakaasa olunaku lwajjo nga bawakanya ekya pulezidenti waabwe okubafuga emyaka 27 ate n’ayagala okweyongeza ekisanja. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga y’alangiridde eri abeekalakaasi nti pulezidenti takyaali mu ntebe Omukulu ono nno yasoose kutegeeza nga bw’atajja […]

Abatuuze balemedde ku ttaka

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Abantu abatudde ku ttaka okuyita oluguudo lwa Entebbe Express abatanasasulwa basibye omulimu gwonna Eno y’ensonga lwaki kati amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi agenda kusisinkanamu mukama we ku nsonga eno Ssekandi agamba nti emirimu gyesibye mu bitundu ebimu olw’abantu abakyagaanye okusenguka ekigenda okukosa nsalessale eyassibwaawo […]

Omwana akaabizza abantu

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Omwana ow’emyaka omwenda akaabizza abantu bweyegayiridde poliisi obutayimbulwa nyina omuto eyaggalirwa olw’okumutulugunya. Maama w’omwana ono Lucy Atiang okuggalirwa yasooka kwokya mwana ono ng’amulanga kubba nva za kyenyanja zebaali bafumbye. Omwana ono agamba nti kitaawe yafa emyaka esatu emabega kyokka g’okuva olwo nyina amutulugunya era nga […]

Omuyizi akwatiddwa

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Poliisi e Kalungu ekutte omuyizi w’emyaka 14 lwakuteekera kisulo omuliro Pauline Asio owa siniya y’okubiri nga muyizi ku ssomero lya  St Charles Lwanga Kasasa secondary school kigambiwa okuba nti yeeyakolezezza ekisulo ky’abayizi abawala ku lw’okubiri Ekisulo ekyakutte mwemubadde musula abayizi ba S1, S2, S3 ne […]

Monitor eddukiridde abatalina bitabo

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Kampuni ya Monitor publications olunaku olwalero ngeri wamu ne kampuni ya  Shreeji stationers industries eddukiridde esomero lya Busiiro primary school erisangibwa mu district ye Luuka, mu kawefube okuletawo enkyukakyuka mu bana Uganda. Essomero lino liwereddwa ebintu ebyeyambisibwa mu kusoma nadala ebitabo. Akulira kampuni ya monitor […]

Abasawo baleseewo emirimu

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro ekkulu erye Pallisa, abasawo bwebasuddewo emirimu okumala essaawa mukaaga okulaga obuwagizi munaabwe gwebaggulako emisango gy’okuvaako okufa kw’omukyala w’olubuto Bosco Obete nga y’akulira eddwaliro ategeezezza bannamawulire nti abakozi baggwaamu amanyi okuva munaabwe lweyaggulwaako emisango egy’okutta omukyala Jessica Alupo  eyafa oluvanyuma lw’okuvaamu omusaayi […]

Bbomu zizzeemu e Nigeria

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Bbomu ebalukidde ku paaka ya baaso mu kibuga Gombe ekya Nigeria esse abantu bana n’okulumya abalala 32. Ab’obuyinza mu ddwaliro lye Gombe erikola ku balumiziddwa gamba nti omuwendo guno gweyongera buli lukya ate nga bbo ababaddewo bagamba nti emmotoka 13 zeezisanyeewo mu muliro. Poliisi egamba […]

E Kaberamaido Basaddaase omuntu

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

  Entiisa ebutikidde  abatuuze mu gombolola ye Ochero  mu disitulikiti ye Kaberamaido oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja ow’emyaka 33 nga gusaliddwako ebitundu byagwo eby’ekyaama.   Omugenzi ategerekese nga Simon Peter Olobo  omutuuze ku kyalo Amotot nga era kiteberezebwa nti yasaddakiddwa. Okusinziira ku batuuze, omugenzi yabula […]