Amawulire

Uganda eweereddwa ssente z’okulwanyisa Ebirwadde bya Ebola ne Marburg

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

Ekibiina ky’amawanga amagatte kisuubizza Uganda obuwumbi 18 ez’okulwanyisa ebirwadde okuli Ebola ne Marburg. Kino kiddiridde endagaano etuukiddwako wakati wa Uganda n’ebitongole by’ekibiina kino ey’okuyamba eggwanga wakati wa 2016-2020. Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda y’akiikiridde Uganda sso nga Ahunna Eziakonwa-Onochie  yeyakiikiridde ekibiina ky’amawanga amagatte. Dr Rugunda […]

E Lwengo abayo enkuba ebalese bafumbya miyagi

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

E Lwengo amaka agasoba mu 17 gali ku ttaka oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu bino . Enkuba eno ebaddemu ne kibuyaga ow’amanyi n’omuzira esaanyizzaawo n’ensuku eziwerako nga kw’ogasse emisiri gya muwogo, ebijanjalo n’ebirime ebirala . Ekyaalo kya  Bugaga Zone mu tawuni kanso ye […]

Omusawo eyakuba omwana empiso ya siriimu ayimbuddwa

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

  omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana omuto empiso gy’amaze okwekuba nga ate alina  siriimu ayimbuddwa. Rosemary Namubiru nga aweza emyaka  64 y’asambira emabega nga ejjanzi oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Rugadia Atwoki okulagira ayimbulye. Kkooti ya Buganda Road y’aggalira Namubiru emyaka 3 oluvanyuma lw’okumusingisa […]

ZZiwa agaanye okuva mu ofiisi

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Zziwa agamba nti abamugobye bamala biseera kuba tajja kuva mu ofiisi Ng’ayogerako eri bannamawulire, Zziwa agambye nti amateeka agagobererwa okugoba sipiika tegagobereddwa kale nga byonna ebyakoleddwa bimenya mateeka Zziwa agamba nti tewali ngeri Lukiiko lw’atamanyiiko gyeruyinza kutuula nerumugoba. […]

Ekyaalo kiwunnya pupu wa kkapa

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Mu kibuga Newcastle ekisangibwa mu ssaza lya Penyslvania mu America, abatuuze batandise okwaamuka ekyaalo lwa kuwumya bubi bwa kkapa n’omusulo Tekinnategerekeka lwaki ekyaalo kyonna kiwunya  kyokka nga buli omu enyindo atambula azibinudde Kati abakola ku butonde bwe’nsi batandise okunonyereza wwa awava olusu.

FUFA big league ezzeemu

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Empaka za FUFA big league zizzeemu leero okwetoolola eggwanga lyonna Wemipiira esatu gyegizanyiddwa mu kibinja kya Elgon ate 4 mu kibinja kya Rwenzori. Abakulembedde mu kibinja kya Elgon aba Kireka United bakwataganye ne kirinnya sss e Jjinja ate Artland K ezannya Maroon mu kisaawe e […]

Abe Kasokoso bawangudde olutalo olusoose

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nga kusaba nti abatuuze be Kasokoso bassibweeko ekiragiro ekibagaana okutunda ku ttaka lyaabwe okutuusa ng’entalo ku ttaka lino ziweddewo Okusaba kuno kugobeddwa omuwandiisi wa kkooti enkulu Michael Otto ng’agamba nti abatuuze abali ku ttaka lino balibaddeko okuva mu gye 60 […]

Abasuubuzi batabukidde bannakenya

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu Uganda bawadde gavumenti ya Kenya ennaku 14 okuta ebyamaguzi byaabwe byonna byebakwatira ku mwaalo e Mombasa Konteyina ezisoba mu 400 zeezitubidde ku mwaalo yadde nga banyini zo baasasula buli kimu. Mu lukiiko abasuubuzi lwebatuddemu basazeewo nti bakutandika okukozesa omwaalo gwe Dareesalam kubanga abe […]

Omwana eyatulugunyizibwa atwaliddwa e Mulago

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku mwana agambibwa okutulugunyizibwa omukozi w’awaka. Omwana ono olwaleero atwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa okulaba obuvune bweyafuna Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira akakasizza nti omwana ono abaddeko e Mulago era nebamwekebejja . Omwana ayogerwaako yeeyalabikira mu katambi ng’atulugunyizibwa […]

KCCA eyimirizza abasirikale baayo

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiwummuza abasirikale baakyo 59 lwampisa mbi Bino bizze wakati mu kwemulugunya nti abasirikale bano bayitirizza obukambwe nga bakola emirimu gyaabwe. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti abamu ku bawummuziddwa beebasaba enguzi, n’okusiwuuka empisa nga bakola emirimu ekiswaaza ekitongole […]