Amawulire

Buganda Royal Institute etikkidde

Ali Mivule

January 31st, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga ayagala ettendekero lya Buganda Royal Institute lifuuke eky’okulabirako eri amatendekero k’ekika kino mu kitundu kya East Africa. Ng’ayogerera ku mikolo gy’okutikkira abayizi, katikkiro agambye nti emisomo gy’omumitwe gisaanye okwongerwaamu amaanyi ebbula ly’emirimu bweriba nga lyakuggwaawo. Ono agamba nti […]

Kayisanyo kakuzza baana mu masomero

Ali Mivule

January 31st, 2015

No comments

Kayiisanyo mu kibuga Kampala ng’abazadde bagula ebyetaagisa okuzza abaana ku masomero. Ebintu biwanikiddwa ebbeeyi naddala engatto z’abasomi n’ebikozesebwa kyokka nga kino tekirobedde bagula Mu banka , enkalala mpanvu nga tuyiseeko mu banka ezimu ezisinga okusasulibwaamue nsimbi z’abayizi ng’enkalala zikwatiridde Mu kikuubo, abaayo banoga wakati mu […]

Ebigezo by’abasiraamu bifulumye

Ali Mivule

January 31st, 2015

No comments

Entendekero lya Islamic University in Uganda lifulumiza ebyava mu migezo bya s.4 ne s. 6 eby’eddini. Abaana 412 beebatuula ebigezo bya s.4  okuva mu masomero 38 ate abayizi 107 bebatuula ebigezo bya s.6 okuva mu masomero 14. Abaana 34 beebafunye eddaala erisooka mu s.4 nga […]

Endagamuntu ze Wakiso zituuse

Ali Mivule

January 31st, 2015

No comments

Abeewandiisa okufuna e Ndagamuntu e Wakiso kyaddaaki zituuse. Kaadi eziweza emitwalo 48 zeezituuse ku kitebe kya disitulikiti era ng’okuzigaba kutandise Amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Rosemary Namubiru akubirizza abantu bonna okugenda gyebewandisiza okufuna endagamuntu zino. Namubiru agambye nti endagamuntu zino zakuyamba banna Wakiso naddala […]

Ebibiina by’emizannyo biwereddwa

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Akakiiko akatwala eby’emizannyo mu ggwanga kasattuludde ebibiina ebiddukanya emizannyo egitali gimu mu ggwanga. Ebibiina bino birangibwa butagoberera mateeka agaleetebwa akakiiko k’emizannyo omwaka oguwedde. Mu biwereddwa mwemuli aba FUFA ate ng’abawonye kuliko ekikola ku kuwuga n’ekikola ku mizannyo gy’ensamba ggere Ebibiina bibiri byokka okuli eky’okuwuga n’ensambaggere […]

MUfti yetondedde abayisiraamu

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Mufti wa Uganda Sheik Shaban Mubajje olwaleero yetondedde abayisiraamu bonna olw’ensobi z’akoze mu myaka 20 egiyise Mu kusaba okw’enjawulo okw’obumu okubadde ku muzikiti gwa kampala mukadde, Mubajje asuubizza nti essuula empya egenda okuggulwaawo. Mu kusaba kuno Sheikh Sulaiman Kakeeto, Amir Ummah Yahaya Ramathan Mwanje n’owa […]

Omuzimu gukaabye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Omusajja eyafa edda akimazeeko abantu bw’azze okwetaba ku lumbe lwe ng’abwakuba omulanga omuzibu Guo Liu, 45 nga nzaalwa ye China yafa emyezi esatu emabega bweyali agenze awutu ne mikwano gye Omusajja ono gw’oyinza okuyita omuzimu azze yefuuyira ka sigala era abantu nebabuna emiwabo  

Eggye ku ba Bokoharam lijja

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Omukago gw’amawanga ga Africa guwagidde eky’okutondawo eggye erinalwanyisa aba Boko haram Akulira omukago guno agambye nti akabinja kano kafuuse kamaanyi nga keetaga kukwasisa maanyi. Bano kati bakuwereezaayo abajaasi emitwalo musanvu n’ekitundu Aba Bokoharam bawambye ebifo ebiwera mu Nigeria nga batandise okuyingira mu Benin, Cameroon, Chad […]

Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Ettendekero lye Makerere litandise kawefube w’okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Ebola Ekigendererwa kya kutegeera engeri eddagala lino gyeriyinza okukolamu ate nga terikosezza bantu Akulira essomero lya Makerere University Walter Reed project Hannah Musoke agambye nti bagenda kugereza ku bantu 90 abali wakti w’emyaka 16 ne […]

Nabakyala Kemigisha mulimba- Kkooti

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

KKooti erangiridde nti Nabakyala we Tooro Best Kemigisha mulimba Kiddiridde omulamuzi w’eddaala erisooka Simon Kintu okugoba omusango gweyali yawaaba munnamateeka Bob Kasango nti yamubbako ensimbi. Omulamuzi agambye nti Nabakyala Kemigisha yalimba poliisi bweyategeeza nti Kasango yamuwangako yadde ekikumi kyokka ate mu kkooti n’agamba nti yamuwa […]