Olwali

beesazeeko obusajja okugenda mu ggulu

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Australia, waliwo omusajja akakasizza basajja banne abalala 400 okwesalako ebitundu by’ekyama mbu lwebanagenda mu ggulu Omusajja ayogerwaako Ram Rahim Singh alina abagoberezi obukadde 50 era ng’azannya ne firimu Omusajja ono wetwogerera nga poliisi emunoonya

Bana battiddwa

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Abantu bana beebakubiddwa amasasi agabattiddewo mu kavuvungano akabadde ku baala emu e Mbarara Bino bibadde mu kabuga Lugazi mu divizoni ye Kakoba mu disitulikiti ye Mbarara Kigambibwa okuba nti omukozi mu kitongole ky’ebisolo ekya Uganda wild life authority ategerekese nga Justus Nsubuga y’akubye amasasi oluvanyuma […]

Abasuubuzi beegatte

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta  Museveni asabye abasubuzi okwongera okukwatagana n’okwegatta, okusobola okukola businensi enene. Bwabadde atongoza okuzimba ekibuga ekitumiddwa Mega city e Mukono, Museveni agambye nti abasubuzi abasinga obungi bagala kukola bokka, ekikendeeza amagoba gebafuna. Museveni agambye nti abasuubuzi bwebegatta basobola n’okwewala okwewola ensimbi mu […]

Abakyala bakutulugunyizibwa

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Ababaka ba parliament abakyala abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Women’s Parliamentary Association UWOPA bavuddeyo tebategeeza ng’ebikolwa eby’okutulugunya abakyala wamu n’abaana mu maka bwebyeyongedde mu ggwanga nga kino kivudde ku mateeka ga musibya byayi ageetaga okukyusaamu. Abakyala bano abakulembeddwamu Mariam Nalubega babadde batalaaga ebitundu bya […]

Goonya ye Namayingo teyandittiddwa

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Ab’ekitongole ekikola ku bisolo by’omu nsiko bavumiridde eky’okutta goonya e Namayingo. Ku lw’okuna lwa ssabbiiti eno, abatuuze be Namayingo beegatta nebatta goonya gyebagamba nti yali esse n’okulumya abawera Akulira ekitongole kino Dr. Andrew Seguya agamba nti kituufu kiruma okulaba nti goonya eno eridde abawera kyokka […]

Emidaala gyakugabwa

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Emidaala egisoba mu 300 mu katale ke Wandegeya gyakugabwa oluvanyuma lwa ba nanyini jo obutalabikako kugikwata Akulira bakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti bbo kati beebakola asala nga nebabayita abagikwata tebalabikako Omudaala e Wandegeya guli wakati w’emitwalo 4 ne 8 buli mwezi ng’abataakwata midaala […]

Enzizi eziri mu kibuga ziggaddwa

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Gavumenti yakuggala ebifo byonna ebivaamu amazzi mu kibuga kubanga kizuuliddwa nti byebitambuza kazambi Ebifo ebimu ku byogerwaako kwekuli oluzzi oluli mu paaka enkadde Minisita akola ku byobulamu ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bamaze okukwatagana n’ab’amazzi okulaba nti bassaawo amazzi amayonjo Opendi agamba nti abantu bangi […]

Omusaala gwa Minista Nantaba gwakugabibwa mu kkooti

Ali Mivule

February 27th, 2015

No comments

  Kkooti enkulu ekola ku by’ettaka eragidde kalaani wa palamenti   Jane  Kibirige  okweyanjula mu kkooti wiiki ejja n’omusaala gwaminisita omubeezi ow’ebyettaka ssaako n’ensimbi ze ez’ensako eby’omwezi guno. Zino zakusasula bbanja ery’obukadde 23 mwemitwalo 70 ezibanjibwa Minisita Aidah Nantaba. Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti  […]

Ebyava mu bigezo bya S6 bifulumye

Ali Mivule

February 27th, 2015

No comments

  Minisitule y’ebyenjigirza efulumizza ebyava mu bigezo bya siniya 6 eby’omwaka oguwedde. Abayizi bakoze bulungi nga era 98.7% bayise bw’ogeregeranya ne 97.4% abayita mu 2013. Okusinziira ku ssabwandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga Matthew Bukenya  abayizi 64,100 bayise nga era basobola okwegatta ku yunivasite n’amatendekero agawaggulu […]

Okuwandiisa abantu kati kyabuwaze

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Ebbago ly’etteeka erikwata ku kuwandiisa abantu eryomwaka 2014 liyisiddwa palamenti Wabula kino kibaddewo wakati mu kusika omuguwa ku buwaayiro obutali bumu okuli n’ako akakwata ku kuwandiisa abantu abalina ebitundu by’ekyama ebibiri. Kano kyadaaki kajjiddwaamu era etteeka neriyita. Etteeka lino lijja kukifuula kya buwaze omuntu okulaga […]