Amawulire
Abavuganya basimbudde ku mateeka g’okulonda
Abakulembeze b’oludda oluvuganya gavuenti wansi w’omukago gwabwe gwabwe ogubagatta ogwa Interparty Cooperation batongozza kawefube w’okukunga bannayuganda okusimbira ekkuuli enongosereza mu ssemateeka ezafulumiziddwa gavumenti. Nga bakulembeddwamu loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye, bagamba nti gavumenti eriko kati […]
Aba Mbabazi bagobeddwa
Ekibiina ky’abavubuka ba NRM mu bitundu bye Rwenzori kigobye abakulembeze baakyo 3 lwabigambibwa nti bekwenyakwenya n’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi. Okusinziira ku bbaluwa eyabagobye eyawandiikibwa nga 29 April 2015, abasatu bano babadde balya mu lurime ne luzise. Abagobeddwa kuliko Hidden Basiima nga ye […]
Omulambo mu kibira
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja atanategerekeka. Kasimu Jjunju y’agudde ku mulambo guno nga abadde alunda nte ye mu kibira. Jjunju agamba awulidde ekivundu ekyamanyi okugenda okwekeneneya amaaso agakubye ku mulambo oguvunze. Okusinziira ku Deo Mutate ,nga […]
Omwana attiddwa
Poliisi eriko omulambo gw’omwana omuwala ow’emyaka 14 gwezudde nga gusuuliddwa ku luguudo lwa Yusuf Lule amakya galeero. Rehema Nassali nga muyizi ku ssomero lya Buganda road primary school kigambibwa nti y’asoose kusobezebwako abantu abatanategerekeka nga tebanamutta. Taata w’omugenzi ategezezza nga bwayitiddwa bukubirire okuva […]
Kaihura akyusizza Kafeero
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ettendekero lya poliisi erye Kabalye mu disitulikiti ye Masindi. Abadde alikulira Moses Kafeero akyusiddwa n’asikizibwa abadde aduumira ekibinja kya poliisi ekirwanyisa obutujju Frank Mwesigwa. Kafeero kati atwaliddwa ku ttendekero lya poliisi eddala erye Bwebajja . Yadde […]
Bannayuganda tebagaala kugula dikooda
Yadde nga nsalessale w’okujjako TV ezitaliiko dikooda atuuse, abantu bango tebafuddeeyo kuzigula Abatunda dikooda zino mu ggwanga bagamba nti abantu bakyagaanye okuzigula era ng’eggwanga terinnaba kwetegeka kukyuusa yadde nsalessale wa nga 17 omwezi gw’omusanvu. Kitunzi wa Star Time Aldrine Nsubuga agambye nti abantu bamanyiira nti […]
Atambuzza ekidomola afunye emitwalo 40
Omusajja ow’emyaka 33 atambudde mailo 16 n’ekidomola kya liita 20 nga tawummuzza era neyewangulira emitwalo 40 Japhet Mwebembezi omutuuze we Kyanamukaaka atambudde olugendo lwa mailo 16 mu mpaka z’abaddemu ne munne ategerekese nga Paul Muwonge Mwebembezi ategeezezza abatuuze nti asobola okutambula okuva e Kyannamukaaka okutuuka […]
Abaayidde Asidi babatiisatiisa
Ab’oluganda n emikwano gy’abantu abayokeddwa acid basabye gavumenti ebayambe ku mugagga eyeefudde mmo ku kyaalo kyaabwe. Abantu mukaaga ab’omu nju emu bayokeddwa aside nga ku bano omusajja afudde enkya ya leero kyokka ng’omukyala n’abaana bakyapooca n’ebiwundu Ekikangabwa kino kyagudde ku kyaalo Wabiyinja e Masuliita mu […]
UTL egenda
KKampuni y’empuliziganya eya Uganda Telecom yeetaga obuwumbi 65 okudda engulu oba ssi kkyo mu nnaku nkaaga ejja kuba eggaddewo Kkampuni eno nga Uganda egirinamu omugabo ne Libya ezze egwa era nga kati amabanja g’erina tegakyasobola kukola mirimu Akulira olukiiko olutwala kkampuni eno Steven Kaboyo ategeezezza […]
Ekisakaate ky’amasaza kibumbujja
Ekisakaate ky’abaana ba Buganda ekitambulira ku musingi gw’amasaza kiyingidde olunaku olw’okusatu nga kibumbujjira ku ssomero lya Royal Giant e Mityana mu ssaza lye Ssingo. Ekisakaate kino kitambulidde ku mulamwa gw’okunyikiza enkolagana ennungi mu baana ssaako okulonda abakulembeze b’abasaakaate okusinziira ku masaza abaana bano gyebava. Omubanguzi […]