Amawulire

Ssezaala amenye enyumba ya Mukodomi we.

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2017

No comments

 

Bya Ivan ssenabulya .

E Mukono  ku kyalo Kiyoola mu gombolola ye Nakisunga abatuuze bawuniikiridde ssezaala bwalumbye enyumba ya mukodomi we n’agikoona koona najireka ku ttaka.

Ronald Kawere ow’emyaka  47 kigambibwa  nti yaafunye obutakannya n’emukodomi we Tonny Kasujja  gw’alumiriiza okumujooga n’amwogerako eby’ensimattu.

Kigambibwa bano babaddenga bagugulana ng’omuko ayogera ku taata nga bw’amumazeeko emirembe kko n’okumusaba nga ensimbi

Wetwogerera nga ssemaka ono akwatiddwa

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *