Amawulire

Aba Boda Boda 4 Bebakwatiddwa mu Lutalo lwe Wakaliga

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2017

No comments

KAMPALA

Bya Ivan Ssenabulya

Aba Boda Boda 4 bebakwatiddwa poliisi mu lutalo olwabaddewo olunaku olwe ggulo wali e Wakaliga, oluvanyuma lwebiwayi ebiri ebitalima kambugu ekya Boda Boda 2010 nekya Cenurty okwegwa mu bulago.

Poliisi yategezezza nti aba 2010 bebalumbye aba Century, nebabulonda mu lutalo kafumuula nkete kyenkana olwakulungudde olunnaku lulamba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Emilian Kayima akaksizza okukwatibwa kwabantu 4, abagenda okuvunanibwa oluvanyuma batwalibwe mu kooti.

Mu lutalo luno, pikipiki bbiri zatekeddwako omuliro nezisanawo.