Amawulire

Aba-Nyarwanda mu Uganda Bazze mu Bungi Okulonda Pulezidenti

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2017

No comments

KITANTE-KAMPALA

Bya Benjamin Jumbe

Banansi be gwanga lya Rwanda abawangaliira mu Uganda baakedde kweyiwa ku kitebbe kye gwanga lyabwe mu Kampala, mu bungi, okulonda omukulembeze we gwanga.

Bano bakedde ku maliiri okulinda, okulonda kuggulwewo nga kankano kugenda mu maaso wali ku luguudo lwa Nakayima e Kitante.

Aba-Nyarwanda abali ebweru we gwanga bonna balonda olwaleero mu kulonda kwa bonna, songa okulonda munda okwabwe kugenda kubaawo olunaku olwenkya.

Abalonzi bakedde, nga nabamu batuuse ku ssaawa 9 ogwekiro nga tebunasasaana nebasimba enyiriri.

Bwabadde ayogerako eri bannamwulire, omubaka wa Rwanda mu Uganda Maj Gen Frank Mugambage nga wetwogerera yamaze okulonda, abadde musanyufu nti bannansi bangi abazze okwetaba mu kulonda kuno.

Byo ebyokwerinda binywezeddwa nga poliisi ya Uganda yebulunguludde ekifo.

Abantu 3 bebabbinkana ku bukulembeze bwe gwanga lya Rwanda.

Bano kuliko President Paul Kagame owa RPF, Frank Habineza okuva mu kibiina kya Green Party of Rwanda ne Philip Mpayimana eyesimbyewo nga Nampawengwa.