Amawulire

Abaana abatikiddwa basabiddwa okwetonderawo emirimo.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

By Damali Mukhaye.

Wetwogerera nga okukira abayizi abe Makerere abasoba mu 14,000 kugenda mu maaso, nga gano g’ematikira agakyasinze okubaako abaana abangi mu byafayo bya Makerere.

Mukwogera amyuka akulira etendekero lino Prof. Barnabas Nawangwe asabye abayizi bonna abagenda okutikirwa nti bagwana beewale okusoma omuwawa ate batandike okuyigga emirimo, wabula bbo benyini bafube kulaba nga bebatondawo emirimo bakozese banaabwe abatuuse kumutendera guno.

Ate ye ssenkulu we tendekero lino Prof. Ezra Suluma ategeezeza nga government bwegwana okutandika okutondawo emirimo egimala okukozesa abaana nga bano abatikiddwa, kino kikendeeze kwabo abadukira ebunayira okugenda okuyigga emirimo.

Ono mungeri yeemu asabye abayivu nga  bano abatikiddwa okufuba okukulwanirira, ko n’okukuuma ekitiibwa kya Africa, nadala mu kaseera nga kano nga abamu kubakulembeze abamaanyi batandise okuyisa olugaayu mu Africa emiisana tuku.

Abaana abatikiddwa leero beebo abasoma eby’obulimi ,eby’enjigiriza, eby’obutonde bwensi , kko nabasomera ebweru we tendekero lino.

Kuno okutikira kugenda kumala enaku 4 , era nga kuggwa ku lwakutaano.