Amawulire

Ababaka ba NRM abawakanya okujja ekkomo ku myaka bagobeddwa mu kabondo

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses

Ababaka bekibiina kya NRM 7 bagobeddwa okuva mu kabondo kekibiina akagenda mu maaso, olwokuwakanya ennongosererza mu ssemateeka okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Nampala wa gavumenti, Ruth Nankabirwa yasomye ababaka bano 7 era nebalagirwa mbagirawo okwamuka ekisinge omuli akafubo wali ku wofiisi ya ssbaminista.

Bano kubaddeko Theodore Ssekikubo owe Lwemiyaga, Barnabas Tinkasimire owe Buyaga West, John Baptist Nambeshe owa Manjiya, Gaffa Mbwatekamwa owa Kasambya, Patrick Nsamba owa Kassanda, Sylvia Rwabwogo omubaka wa Kabarole District ne Acidiri James owa Maracha East.

President Museveni atuuse mu lukiiko luno wakati mu bbugumu eryamanyi.

Kitegezeddwa abegye erikuuma omukulembeze we gwanga aba Special Forces Command (SFC) balabiddwako mu kiffo kino.

Amawulire getusomodde okuva munda mu nsisinkano eno nomubaka wa Kinkizi West, James Kaberuka agobeddwa, oluvanyuma lwokwesimba nabuuza President Museveni lwaki nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa asindikirizza ababaka, bebayawunaka nabo mu ndowooza.