Amawulire

Abadde afera owa Mobile Money alula

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Solomon Muwanguzi bamukutte ng’afera Nadiah Nabateregga akola ku Mobile Money ne bamukuba ne bamutulisa emimwa n’ennyindo era poliisi y’e Kawempe Ttula egenze okumutaasa ku bantu ng’afuuwa musaayi tasulewo tasibe yalikumimwa gyabantu.

Kitegerekesse nti  omuvubuuka ono agambye Nabateregga nga bw’ayagala okumusindikira 10,000/ ku ssimu ye era bwatyo n’amugyako ssimu mbu yeeteeremu ennamba era mu kuginyigaanyiga yeesindikidde 1,600,000/

Nabateregga yalabye obubaka ng’ate tannaba kuweereza ku ssente ezo n’amukubira enduulu abantu ne bamugoba.

Poliisi y’e Ttula ng’ekulembeddwaamu OC Dan Ampadde yemutaasizza nga mukiseera kino ali mulago nebiwundu wabula nga wakutwalibwa mumbuga za mateeka avunanibwe ogwokugezaako okunyagga.

omuvubuka ono.

Mu kwewozaako agambye nti waliwo omusajja gwe bayita Milton abakozesa ng’era ye yamuwadde pini gye yataddemu nga mukiseera kino police yabakanye dda nomuyiggo gwa Milton

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *