Amawulire

Abajja ekomo ku myaka gya president batwalidwa mu kooti.

Ivan Ssenabulya

January 15th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Ekibiina ekitaba banamateeka mu uganda ekya Uganda Law Society kidukidde mu kooti etaputa ssemateeka, nga bano kuwakanya ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga

Bano mukugenda kooti bagenzeeyo nga bakulembedwamu president w’ekibiina kino Gimara,  munamateeka omukukunavu mu uganda Prof Fredrick Ssempbewa ko n’omubaka we Agago North prof. Morris Ogenga Latigo.

Bano bagamba nti  amakubo gonna agaayitwamu okutwala ebago lino mu parliament, okwebuza, ko n’okuteesa tebyagoberera mateeka.

Gimara  agamba nti  n’ekino ababaka kyebaakola eky’okweyongeza emyaka okuva ku etaano gituuke ku musanvu kimenya mateeka, kubanga bano bwebaali basaba akalulu mu 2016 baasaba myaka 5 , kale nga ogifuula 7 kikyamu.

Kati bano baagala kooti eno eya ssemateeka ekirangirire nti enongesereza zino zakolebwa mubumenyi bwamateeka,era nga zivoola ssemateeka we gwanga.