Amawulire

Abakulembeze b’e Mpigi bagaanye okugikwatako.

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba

 

E Mpigi omubaka wa Mawokota South John Bosco Lubyayi ategeezeza nga bwagenda okusimbira ekuuli ekiteeso eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, kubanga abantu bakiikirira kino ky’ebaamutumye.
Ono okusalawo bwati amaze kuwayaamu n’ebakansala b’amagombolola okubadde Kituntu Nkozi ne Buwama abasobye mu 70 wabula bonna nebamutegeeza nti tageza neyegatta kwabo abaagala okw’emooleraku nyingo ya 102 B.
Kati ono agambye nti wadde munna NRM lukulwe , naye abantube abaamutuma bamugaanye okuwagira ekiteeso kyekibiina.