Amawulire

Abakulembeze mu FDC bakyalwaana

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

Mafaabi 2 new

Enkayaana eziri mu kibiina kya FDC zikyagenda mu maaso ng’abakulembeze ab’okuntikko basongeddwaako okuzikumamu omuliro.

Eyali omuwanika wa FDC Jack Sabiiti awakanyizza ebigambibwa nti yalekulira ekifo kye byona n’abissa mu bamulwana

SSabiiti ewedde, amawulire agava mu FDC gaalaga nga Ssabbiiti bweyali alekulidde ne Mukama we Nandala Mafaabi

Wabula ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Ssabbiiti agambye nti bino byonna bizanyibwa ssabawandiisi w’ekibiina Alice Alaso okubavumaganya

Yye nno Alaso agamba nti Ssabiiti ne Mafaabi tebaggwaangako ssungu lwakuwangulwa ku bukulembeze bwa FDC nga kyebava batawaanay ekibiina