Amawulire

Abalamazi Basimbudde okuva e Munyonyo

Ivan Ssenabulya

May 27th, 2017

No comments

Bya Ndaye Moses

Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala Cyprian Kizito Lwanga akubiriza abakristaayo okukulembezanga emirembe, okuviira ddala mu maka gaabwe olwo ne gwanga awamu lwerinaaba nemirembe.

Ategezezza nti emirembe gyejigwanidde okusembezebwa wakati mu kulamaga nokujjukira abajulizi ba Uagnda.

Buno bwebubadde obyubaka bwa ssabasumba bwabadde asimbula abalamazi wali e Namugongo.

Eono mutambuzi omukulu ye omumyuika wa ssabanibista asooka Gen. Moses Ali.

Ekigwa kye Munyonyo kyatongozebwa  Paapa Francis bweyali agenyiwaddeko kuno, nga kigambibwa wano ssekabaka  Mwanga weyatuula nalamula abajulizi abasooka battibwe olwe diini yaabwe.

Eno omujulizi Andrea Kaggwa weyatibwa.

Kati abalamazi bano bagenda kutukakako mu biffo ebyekijjukizo ebiralala okuli Ponsiano Ngondwe e Kyamula kulwe Salaama, St. Balikudembe mu Kisenyi neku Matia Mulumba ku kasozi Kampala.