Amawulire

Abantu 3 bakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa bwebabadde bawamba poliisi

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2017

No comments

Bya Sma Ssebuliba

Mu gwanga lya Kenya abantu 3 bakubiddwa amasasi agabatiddewo wakati mu bwegugungo obugenda mu maaso okuwakanya akakiiko kebyokulonda obukutte wansi ne waggulu.

Embeera etabanguse mu bitundu bye Siaya ne Migori, abekalakaasi bwebabadde babulonda nabasirikale ba poliisi.

Abantu bano 3 batiddwa wakati mu kulwanagana ne poliisi nga kigambibwa babadde bagezezaako okulumba poliisi ye Bondo, abaomukago gwa National Super Alliance abaddumirwa Raila Odinga, gyebasimbye amakanda.

Okusinziira ku getufunye okuva ku Daily Nation, waliwo ekibinja kyabekalakaasi abasoose okwesimba ku wankaaki oluvanyuma nebagyebulungulula, ne poliisi nebanukuza amasasi, abantu 3 ezaabwe nebavunuka.

Bino webijidde nga  gavumenti okuyita mu ministry eyensonga zomunda mu gwanga yalangriridde obwegugungo buno ngobumenya amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *