Amawulire

Abasirikale 6 abagambibwa okubba enjaga ku kisaawe Entebbe basimbiddwa mu kooti

Ivan Ssenabulya

November 14th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Abasirikale ba poliisi 6 abakwatibwa wiiki bbiri emabega olwokubba ebizibitti olwaleero basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ento Entebbe nebavunanibwa.

kuno kuliko eyali omuddumizi wa poliisi yoku kisaawe Senior Commandant Aviation Police Lodovic  AwitaImoly NantalisAIP Michael Ssemuwemba, Sgt David Owiny, AIP Julius Mwesigwa ne Sgt Deogratius Muhebwa.

Abavunanwa babadde mu maaso gomulamuzi Mary Kaitesi Lukwago, wabulanga beganye emisango ejibasomeddwa.

oludda oluwaabi lugamba nti bano wakati waomwaka gwa 2013 ne 2015 bwebaali bakola ku poliisi yoku kisaawe Entebbe, balina engeri gyebagotaanya enjaga eyali ezotowa kiro 34.5 nekigendererwa obutatwalibwa ngekizibitti.

Wabula bano omulamuzi abayimbudde ku kakalu ka kooti ka bukadde 10 buli ezitabadde za buliwo nababeyimiridde.

Bano balagiddwa okudda mu kooti nga December 11th 2017 bamanye, omusango gwabwe wegunaaba gutuuse.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *