Amawulire

Abasomesa 7 Bakwatiddwa Lwakukuma Muliro mu Bayizi

Ivan Ssenabulya

August 9th, 2017

No comments

BUKOMANSIMBI

Bya Malikih Fahad

Police e Butenga  wano mu  Bukomansimbi  ekutte abasomesa 7 nga bano ebalanze kugezaako kukunga baana ba somero nebagenda balumbe banabwe.

Abakwatidwa  basomesa ba Efukanensi Memorial Primary school  erisangibwa  kku kyalo  Kisiita

Abakwatidwa kuliko Innocent Mitanda  akulira essomero lino, Robert Mudenya, Steven Kiyimba ,Javira Kawooya nabalala nga bano kigambibwa nti bano baakunze abaana be simero lyabwe okulumbagana aba Butenga church of Uganda primary school  babakube nga babalanga kubawangula mu mupiira gwebabade nagwo

Ben Osiende nga ono yakola ku byokunoonyereza kku misango mu kitundu kino agambye nti bano akadde konna bagenda mu kooti.