Amawulire

Abateberezebwa okutta Kaweesi bawereddwa obukadde kinaana.

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah.

 

Kooti enkulu mu Kampala eragidde gavumenti okuliwa obukadde 80 eri abantu 22 abakwatibwa ku by’ekuusa ku kutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi olw’okubatulugunya okw’abatusibwako.

Kuno okusalawo kukoleddwa omulamuzi Margaret Oguli-Oumo, oluvanyuma lw’obujulizi obuleetedwa nga bulaga nga bano bwebaakubwa nga bali e Nalufenya.

Omulamuzi enamulaye agyesigamizza ku alipoota y’ekitongole ky’obwanakyeewa ekya African Centre for Treatment and Rehabilitation of torture victims, eky’ekebejja bano n’ekikakasa nti mazima batulugnuyizibwa.

Kati mungeri yeemu omulamuzi ono alagidde gavumenti okujanjaba abantu bano mu bwangu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *