Amawulire

Abatujju tebabatiisa- Kaihura

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

terror threats real

Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti okutiisatiisa abatujju kwebakola tekujja kubakosa era bakole gyaabwe

Bino bizze ng’abantu batandise okweralikirira nti okukanga kuno kwandigoba bamusiga nsigo

Ng’ayogerako eri bannamwulire, Kaihura agambye nti waliwo akakiiko akassiddwaawo okulawuna ebifo byonna ebiyinza okulumbibwa abatujju

Asabye abantu okubeera obulindaala okuloopa ekyo kyonna kyebekengedde naddala abantu abatategerekeka

Ebigambo bya Kaihura bizze nga wakayita olunaku lumu lwokka ngekitebe kya America mu Uganda kyakalabula nti abatujju ba Alshabaab balina enteekateeka ezirumba Uganda.

Bino bibadde biri biti ate Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakolebwa egobye okusaba okwakolebwa abavunaanibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 nga bagaala okuyimiriza okuwulira omusango gwaabwe okutuuka nga kkooti y’okuntikko esazeewo ku kujulira kwebaakola.

Okusaba kuno kugobeddwa omulamuzi Kenneth Kakuru ng’agamba nti baali batandika dda ku musango kale nga tewali kyebayimiriza

Abaakola okusaba nga bakulembeddwaamu Omar Awadh baali bawakanya okuwozesebwa mu kkooti enkulu okutuuka nga kkooti y’okuntikko esazeewo ku nsonga y’okuwozesebwa wano oba nedda