Amawulire

Abavubuka ba Mbabazi bakwatiddwa- abamuvuganya beekalakasizza

Abavubuka ba Mbabazi bakwatiddwa- abamuvuganya beekalakasizza

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be

File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be

Poliisi ekutte abavubuka abawagira ba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi amangu ddala nga bakamala okwogerako eri bannamawulire.

Bano babakwatiddwa Kawempe ku country inn gyebabadde baayise bannamawulire.

Bano bagenze okumaliriza okwogera nga poliisi yebulunguludde ekizimbe mwebabadde era nebayoolebwa nebakasukibwa ku kabangali esimbudde ku misinde gy’ekizungirizi

Abamu ku bano basobodde okudduka olwo poliisi n’ewamba n’ebimu ku bintu byebabadde nabyo omuli ebipande n’emijoozi.

Munnamateeka wa Mbabazi Severino Twinobusingye abadde yakategeeza nga bwebagenda mu kkooti okwemulugunya ku bantu baabwe abakwatibwa buli poliisi w’ebalabirako.

Mbabazi bweyabadde mu Bungereza yategeezezza nga bw’ajja okusisinkanamu pulezidenti Museveni okumunyonyola lwaki abawagizi be bakwatibwa.

Abavubuka abakwatiddwa babadde bakogeerako ne bannamawulire nga babategeeza ku nteekateeka zaavwe ez’okutambula e Kenya okusisinkana omukulembeze wa America Barrack Obama agenda okukyalako mu ggwanga lino mu mwezi ogujja

Waliwo abavubuka okuva mu bukiikakkono bw’eggwanga abeekalakaasizza nga bawakanya ekya Mbabazi okwesimbawo.

Bano nga bayita mu mukago gwaabwe ogwa Northern Youth Coalition for NRM Mobilization babaddde bettisse sanduuko y’abafu nga bagamba nti Mbabazi mufu era tasaana kwesimbawo.

Abavubuka bano balayidde nti ssibakuwagira Mbabazi kabe lubaale oba katonda

Yyo poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti ebadde n’enteekateeka ezikwata Mbabazi nga yakatonnya okuva mu Bulaaya

Kiddiridde abampi n’abawanvu okuyiibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda Entebbe olunaku lwajjo.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bayiye abasirikale oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo ababadde bategeka okwaniriza Mbabazi okuva e Bulaaya ate nga tebaasabye lukusa.

Anyonyodde nti nga bannayuganda abalala abava ebweru, Mbabazi babadde tebayinza kumukwata kubanga talina musango

Ono agambye nti wabula poliisi yakusigala mu bitundu eby’enjawulo okukuuma emirembe