Amawulire

Abavuganya batabuse ku banaabwe abakwatiddwa

Abavuganya batabuse ku banaabwe abakwatiddwa

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okuwaayo endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga olwa bannaabwe abakwatiddwa.

Bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu ne ssenkagale w’ekibiina kya FDC Mugisha Muntu bategezezza nga bwebatayinza Kuteesa nga banaabwe tebaliiko.

Bano babadde balina okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka okuwa endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga.

Muntu ategezezza nga bwebatasobola kwanja biteeso byabwe nga banaabwe bakwatiddwa.

Kino kiwalirizza ssentebe w’akakiiko ka palamenti kano ak’ebyamateeka Steven Tashobya okuwa aba FDC olunaku olw’enkya okwanja ebiteeso byabwe olw’embeera eriwo mu kiseera kino.

Poliisi ekutte n’eggalira akulira abakyala ba FDC Ingrid Turinawe

Ono bamukwatidde ku palamenti gy’abadde agenze okwegatta ku banne ababadde bagenze okuwaayo ebirowoozo byaabwe ku nnongosereza mu mateeka

Akulira abavubuka ba FDC Francis Mwijukye y’akakasizza bino

Ebyo nga bikyali bityo n’okutuusa kati Poliisi ekyalemesezza eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya Erias Lukwago okufuluma amaka gaabwe.

Besigye y’omu ku kibinja kyabanakibiina kya FDC abasuubirwa okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka akakola ku nsonga z’ebbago z’etteeka ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga.

Ekikwekweto kino kikulembeddwamu omu ku baduumira ebikwekweto bya poliisi e Kasangati  Fred Ahimbisibwe agaanye Besigye okusegula ekigere okuva ewuwe e Kasangati.

Ye Besigye ategezezza nga bweyewunyizza okulaba nga agaanibwa okuva mu maka ge.

Embeera yeemu ne mumaka ga loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago wali e Wakaliga naye eyagaaniddwa okufuluma.