Amawulire

Abawa Poliisi Obulimba Beyongedde

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2017

No comments

MUKONO

Bya Ivan Ssenabulya

Emisango emijweteke abebyokwerinda bategezezza nga bwejeyongedde ennyo.

Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Mukono Batasi Ibrahim ategezezza nti abantu bangi abeyongedde abalimba nokuwayiriza bannaabwe n’addala mu misango ttaka.

Batasi abadde ayogerako eri abatuuze e Kyetume ku mbeera yobumenyi bwamateeka mu kitundu, nagamba nti abamu baleeta nobujjulizi obw’obulimba nekigendererwa okusibya abamu songa tebalina musango.

Alabudde neku kutwalira amateeka mu ngalo, nategeeza nti basanze nnyo nekibu kino e Mukono kubanga kitataganya okunonyererza kwabwe nga poliisi.

Poliisi kati enywezezza ebyokwerinda mu kitundu kino, oluvanyuma lwabatamanya ngamba abalumba poliisi ye Kyetume nebatta Crime Preventere eyali alekeddwa mu mitambo nebatolosa nabamu ku basibe.