Amawulire

Abayisiramu bagumbye ku kkooti enkulu

Abayisiramu bagumbye ku kkooti enkulu

Bernard Kateregga

September 3rd, 2015

No comments

File Photo: Abasilamu ku kooti

File Photo: Abasilamu ku kooti

Ebikumi n’ebikumi by’abayisiramu bagumbye ku kkooti enkulu wano mu Kampala nga baagala banaabwe abakwatibwa ku byekuusa ku kutibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu bayimbulwe mangu.

Bagamba tebalaba nsonga lwaki banaabwa bakyali mu kkomera sso nga oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obubalumika.
Nga bayita mu munnamateeka waabwe Fred Muwema bategezezza nga mu March nga 24th abakwate basaba kkooti obujulizi eyalagira oludda oluwaabi okuleeta obujulizi mu myezi 2 ekitanakolebwa.
Kati munnamateeka Muwema agamba okutuusa n’olwaleero omuwaabi wa gavumenti ku musango guno obujulizi bumubuze kale abantu be basaana okuyimbulwa.

Muwema on Muslims
Muwema ku basiramu
Omulamuzi wa kkooti etaputa ssemateeka Elidad Mwangushya ataddewo olwa nga 17th okusalawo oba abakwate beyimirirwa oba nedda.