Amawulire

Abe Buikwe baddukidde wa RDC lwa ttaka

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze ku kyalo Nkakwa mu ggomboloLa ye Ssi-Bukunja mu District ye Buikwe balumbye wofiisi yo’mubaka wa
gavumenti abataase ku nkayanan ze ttaka.

Kino kidiridde omugagga aterekese nga Ronald Lwome okubalagira okwamuka ettaka kwebabadde bawangaliidde.

Abatuuze batagezezza RDC we Buikwe, Fred Bamwine nti omugagga ono yagula ettaka lino eririko enkayana mu mwaka gwa 2011 naye emirembe gyabagwako.

Ettaka lino lya yiika 640 nga kuliko nabatuuze abasoba mu 500.

Wabula RDC asubizza okuwandiiokira akakiiko k’ebyettaka ng’akasaba kagonjoole endoolito zino.