Amawulire

Abe Bungereza Besunga ttofaali

Ali Mivule

August 21st, 2014

No comments

katikkiro in Undraiisng drive

Embeera eri wano mu London ya ssanyu jjereere bazzukulu ba Nambi okuva wonna mu Bungereza batandise okutuuka okwaniriza Kamalabyona omutendeke  Charles Peter Mayiga agenda okutuuka wano olunaku ;lw’olw’okutaano mulugendo lwe nga atandika okutongoza okutikkula e Ttofaali mu Bungereza ,America n’mawanga gali mu Bulaya.

Katikkiro waakwetaba mumikolo egitegekeddwa abaganda ababeera wano eginabeeera wo ku lwomukaaga okuva ku makya era bwebunaaziba olwo alyoke agende mu Muzannyo “Entunuunsi” ogwa Bannanatameggwa mu Katemba

The Ebonies nga nsimbi zonna ezinaguvaamu za Ttofaali .Omuzannyo gwakubeeera mu Troxy Theatre

Ebonies bawerekeddwako bannakatemba abayimbi Radio ne Wisal , Catherine Kusaasira ,David Lutalo Kapaapaala

Director wa ba Ebonies Sam Bagenda aagamba nti ensimbi ezinaava mu ttofaali ly’omuzannyo gwaabwe zaakussa bijjukizo ebya ba Ssekabaka mu nyumba ya Muzibu azaala Mpanga