Amawulire

Abe Makindye olwaleero bafesezza omukka ogubalagala

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ebyokwerinda bikyanywezeddwa e Makindye, oluvanyuma lwakanyolagano akaddewo nabawagizi boludda oluvuganya gavumenti, abawakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Abasirikale abagumbulula okwekalakaasa bayiriddwa okulawuna wonna.

Omubaka wekitundu kino Allan Ssewanyana olwaleero abadde yategese olukungaana, okwebuuza ku bantu kubye nnongosereza mu ssemateeka nokubabulira akabi akuli mu kujjawoakwayiro 102/b mu ssemateeka akateeka ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga e 75 egyalambkibwa.

Poliisi olukungaana teruganyizza, bwekubye omukka ogubalagala namasasi mu bbanga, era bangi bakwatiddwa nebagalirwa.

Omuddumizi wa poliisi mu kitundu Sirajje Bakaleke ategezeza nti olukungaana luno terubadde mu mateeka, kubanga lubadde mu kiffo kikyamu.