Amawulire

Abe Mukono baleese obuuma obupima ebirekaana

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abobuyinza mu muniapaali eye Mukono bategezeza nti bafunye obuuma obugenda okupimanga ebirekaana mu kibuga.

Mayor we Mukono George Fred Kagimu ategezezza nti ebikeesa byendingo byonna sssi byakukirizibwa okusukka essaawa  omukaaga.

Ate abasaba ekiro nabo ssibakukirizibwanga okusukka essaawa omukaaga, atenga abalanga ebindongo nebivvulu tebajja kukirizibwa kubeera okumpi namasomero yadde amalwaliro.

Agambye nti kino kigendereddwamu okufuula Mukono ekibuga ekirungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *