Amawulire

Abesenza ku kibira bagobeddwa

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

forest new

Ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga kiragidde abatuuze abasoba mu 1000 abesenza ku ttaka ly’ekibira kye Kibaale okulyamuka nga olwokuna wiiki eno terunaggwako.

Guno mulundi gwakubiri nga balagirwa okwamuka ettaka lino nga basooka kulagirwa kuvaawo nga August 30, 2014 wabula bannabyabufuzi nebabiyingiramu nebasigalawo.

Akulira ekitongole kino mu disitulikiti ye Kibaale Charles Ariani ategezezza nga okusinga banansi b’eggwanga lya Rwanda bebali ku ttaka lino nga banji balimirako n’enyumba baazimba.

Wabula Ariani kuluno ategezezza nga bw’atagenda kukkiriza bannabyabufuzi bonna kuyingira mu nsonga zino nga era bonna balina okwamuka ekifo kino.

Ekitundu kye Kagadi kirina ebibira ebimanyiddwa 16 wabula nga byonna kati byesenzeddwako abatuuze okusingira ddala okuva e Bunyoro n’ababundabunda abava mu mawanga amalala.