Amawulire

Ab’omuliro bafunye obuyambi-abalala balinze mirambo

Ali Mivule

July 2nd, 2013

No comments

petinets

Gavt etuukirizza ekisuubizo kyokuliyirira abo abajiiride mumuliro e namungoona oluvanyuma lwekimotoka kyamafuta okwabika.

Abantu 13 bebakafuna obukadde 5 kwaabo 52 abalina okuliyirirwa ensimbi zino.

Omukungu okuva mu maka gomukulembeze weggwanga  Ruth Nakyobe agamba abo abfiira mumuliro guno, bazadde baabwe bebagenda okuweebwa sente zino oba abenganda zaabwe abalala.

 

Eddwaliro ly’emulago elikola ku muliro lyetaaga obukadde 100 okujjanjaba omuntu omu mu saabiiti emu yokka

Okusinziira w’akulira eddwaliro lino Robert Ssentongo, eddagala lyebakozesa ku b’omuliro lya beeyi nnyo nga n’abakozi beebalina batono ddala.

Ono owkogera bino abadde alambudde abantu abakoseddwa omuliro e Namungoona abali mu kujjanjabibwa emulago

Mulago Hospital Burns Unit requires upto 100m Ono agambye nti beetaga abasawo abayambako abali wakati w’abana n’omunaana buli lunaku naye nga kati tebaliiwo.

Dr Ssentongo kyokka era yeeralikiriddde

Yye akulira oludda oluvuganya gavumenti Nandala Mafaabi naye akyalidde ku bantu bano n’asuubiz aowkongerayo omulanga gwa Dr Sentongo gw’okwongera ku nsimbi eziweebwa eddwlairo ly’omuliro

Mafaabi era asabye Dr Ssentongo okussa okusaba kwaabwe mu butongole mu saabiti emu kuteesebweeko mu palamenti

Ebyo nga bili bityo, kyadaaki ab’enganda abalwanirira omulambo bakkiriziganyizza okugulekayo.

Omukyala obwedda alumiriza nga bw’amanyi ebigere bya bba, Joseph Ntale kyokka ng’abe waabwe bawakana