Amawulire

Aduumira Police mu kampala eyamaserengeta anonyerezebwako.

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye.

 

Ekitongole kya police ekikwasisa empisa kitegeezeza nga bwekikute abaserikale baakyo bana   okuva mu  maserengeta ga kampala ,  nga bano balangibwa kwetaba kukunyaga banansi ba  South Korea  babiri.

Twogedeko ne Vincent Ssekate nga ono yayogerera ekitongole ekya Professional Standards Unit n’agamba nti bano omugatte bali bataano ko n’aduumira ekitundu kino  Siraj Bakaleke.

Ono ategeezeza nti bakareke ye yateereddwa oluvanyuma lw’okukola statement ku police, songa bo banne abana  bakyali mu komera

Bano kigambibwa nti beekobaana nebanyaga ensimbi obukadde 1,400 , nga zino baazibba kubagwira bano abaali bazze okugula zaabu.