Amawulire

Akabenje e Kakiri Katuze Abatanakakasibwa Muwendo

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abantu abatanakakasibwa muwendo kigambibwa nti bafiridde mu kabenje kagudde e Kakira mu distruct ye Jinja.

Okusinziira ku berabiddeko abantu 3 bandiba nga bebasirikidde mu kabenje kano.

Mmotoka kika kya Taxi UAZ 772/H eyingiridde ki trailer namba UAB99Y/ ngeno ebaddeko enamba endala UAF 546/T ebade egezaako okukyukira wakati mu kkubo.

Wabula omwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga Charles Ssebambuliidde, ategezezza nti omuntu yeyakaksibwa nti afiridde mu kabenje kano.

Omugenzi amumenye nga Mukosi, songa ababuuse nebisago agambye nti badduisddwa mu ddwaliro ekkulu e  Jinja.