Amawulire

Akena Bamungoleedde mu Lukiiko

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2017

No comments

LIRA

BYA BILL OKETCH

Omubaka owa munisipaali eye Lira munna UPC, Jimmy Akena Obote agudde mu kiswalo olwaleero bwebamungodde wali ku ttendekero lya Uganda Technical College, mu kibuga ekye Lira ababaka ba palamenti abava mu kitundu kye Lango bwebabadde batudde, okufuna endowooza zabantu nokubojiwaza ku nnongosererza mu ssemateeka we gwanga ezayanjulwa ezomwaka 2017.

Eyaliko kansala mu lukiiko lwa  distrct ye Otuke, Dina Bua awuliddwako ngaddumira bangoole Akena era nalagira akazindaalo kamujibweko.

Omubaka we ssaza lye Ajuri Denis Hamson Obua, aliko naye engeri gyasanyuseemu olwa kino era, kyenkana okumala essaawa namba nga Akena ayogera, kubadde kuwanyisiganya bigambio ebinene nebiwanvu.

Abakule,beze nabantu baulijjo bagambye nti Akena, alemereddwa nokubamatiza obukulu bwe nnongosererza gavumenti mweyagalira okwezza ettaka lyabantu nobuwaze.

Ono era bamulanze okuba nti mukyala we nga ye minister we ttaka okuba nga yali emabega we tteeka nga lino.