Amawulire

Amaka emitwalo 19 gasindikirizibwa okuva ku ttaka mu mwaka gumu

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Amaka agasoba mu mitwalo 19 bebagobw aku ttaka mu bukyamu enelyanyi mu district ye Mubende mu mwaka oguwedde 2017 gwokka.

Bino birabikidde mu alipoota eyemikko 56 ekwata ku kibba ttaka, efulumiziddwa aba Witness Radio.Org gyebafulumizza olwaleero.

Alipoota eraga nti abantu bafiriddwa ettaka hectare obukadde 2 nga litwalibwa bamusiga nsimbi, nabagagga bamuno, abagamba nti balina abanene mu gavumenti.

Okunonyereza kuno kwakolebwa okuva mu October wa 2016.

Omunonyererza omukulu Wokulira Ssebagala anokoddeyo ekitulugunya bantu, okukaka abakazi omukwano mu kirindi nebiralala ebityoboola eddembe lyabantu.

Ono alabudde ku kabi akejala, kubanga abantu tebakyalima nabasinga baksigala emombozze, ngokusinga ekibba ttaka kiri mu district ye Kitumbi, Nalutuntu, ne Madudu.

Bagamba nti ebiri e Mubende biraga ekifananyi ekiri e Mubende.

Mungeri yeemu bano balaze okutya ku nkulakulana eygerwako ku ttaka erigobwako abantu.

Wokulira Ssebaggala ategezeza nti ettaka 85% erigobeddwako abantu, mpaawo nkulakulana ekolebwako.

Agamba waliwo okutya nti ono yandiba kigumaaza, nokuwa abanu essuubi eryobulimba mu kooti oluvanyuma ebyabwe bitwalibwe.