Amawulire

Amasimu g’ebicupuli okujjako tulinda tteeka

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

phone user

Akakiiko akakola ku by’empuliziganya mu ggwanga kagaala lukusa olujjako amasimu gonna agebicupuli.

Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku bya tekinologiya, omukulu okuva mu kakiiko kano Patrick Mwesigwa agambye nti tebasobola kujjako masimu gano nga tebalina tteeka mwebakolera

Ono abadde ayanukula ababaka ba palamenti abeemulugunyizza ku masimu g’ebicupuli agayingizibwa mu ggwanga buli lunaku nga tewaliwo akuba ku mukono

Mwesigwa kyokka agamba nti ekyuuma ekijja nga okuyamba okujjako amasimu awatali buzibu bwonna kyakutuuka mu ggwanga akadde konna era nga kijja kwongera okwanguya emirimu gyaabwe