Amawulire

Amayumba gamenyeddwa

Ali Mivule

February 21st, 2013

No comments

houses demolished

Bawanyondo ba kooti nga bakuumibwa police enkya ya leero batandise okumenya amayumba ga batuuze e Mbuya ku ttaka erikyaaliko enkaayana eriri ku luguudo lwa ismail e Mbuya .

Obusolya obusinga bulitale nga babanyini mayumba gano bali mumaziga.

Kino kiwalirizza abamaka agawereredala 7 okwaaamuka ekifo kino wabula nga beebuza wa gyebagenda okudda.

Omu kubatuuze abakoseddwa  Vincent Senfuka  agamba nti tebayina wadde ekikumi nga tebamanyi  waakudda nga kati obulamu bwaakukaluba.

Senfuka  agamba nti kooti ye nakawa yayimiriza ekyokubagoba ku taka lino paka nga 18 omweezi ogujja wabula beewunyizza okulaba nga babakedde okubasengula.

Ettaka lino lyaali lyabayindi aba family ya ismail mu gyaatano wabula eyali president bweyabagoba nebalireka emabega olwo gavt neritunda nga bano babaddeko nga bapangisa.