Amawulire

Asobezza ku Muwala we Namusalako Omutwe

Ivan Ssenabulya

August 11th, 2017

No comments

MUBENDE

Bya Magembe Sabiiti

Abatuuze ku kyalo Katabalanga mu south Division mu kibuga kye Mubende bagudemu ekyekango taata bwakakanye ku muwala we Nalumbugwe  Florence ow’emyaka 6 namusalako omutwe nga kigamibwa yasoose kumusobyako.

Kimera Anatoli owemyaka 35 kigambibwa yakakanye ku muwala we abadde omuyizi ku somero lya  Katabalanga C/U P/S namusalako omutwe.

Maama w’omwana ono Tebasulwa Jane ategezeeza nga bwaludde nga yayawukana nomusajja oluvanyuma lw’okumutulugunya.

Ssentebe  we kyalo Mugerwa Fred avumiridde ettemu lino nasaba poliisi ekole okunonyererza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *