Amawulire

Avunanibwa Okutta Kaweesi Nate Arumirizza Poliisi

Ivan Ssenabulya

August 9th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Omu kubasajja 24 abavunaibwa ogwokutte eyali  ayogerera police Andre Felix Kaweesi bwazeeu okulumiriza police nga bweyatulugunyizibwa mu kaduukulu ka police.

Bano amakya ga leero nate bazeemu nebalabikako mu maaso gomulamuzi wa kooti eno e Nakwa Noah Ssajabi owonmgera okumanya okunoonyereza ku musango gwabwe w’ekutuuse

Tutegeezeddwa nti omu kubavunanwa Gibril Kalyango  ategeezeza omulamuzi nti nga ali mu komera waliwo omusserikale eyamukaka okuteeka omukono ku kiwandiiko , kyoka olwokuba byali byampaka teyamanya makulu gaakyo

Wabula omulamuzi asabye Kalyango ono okugura nga akakana kubanga zino ensona wakufuna akadde azitegeeza kooti enkulu bwanaaba atuuseyo

Kino tekimalidde kalyango , agenza mu maaso nasaba omulamuuzi ategeezebwe  abantube gyebali, nga kuno kwekulu nomwana owemyezi omwenda gwagamba nti ppolice yamukwata

Kati bano omulamuzi azeemu okubasindika e okutuusa nga August 24th.