Amawulire

Ayokezza Omwana wa Muganda we lwa Nnusu 1000

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2017

No comments

WANDEGEYA

Bya Shamim Nateebwa

Waliwo omukazi kalittima eyakwatiddwa poliisi y’e Wandegeya ngakyaggaliddwa oluvannyuma lw’okwokya omwana wa muganda we akaveera lwa kubba nnusu 1000/-

Specioza Nabuuma  yakwatiddwa n’aggalirwa lwa kwokya Carol Nabaweesi owemyaka 10 gyokka.

Kino kidiridde abasomesa ba Nabaweesi okumulaba n’amabwa ku bitundu byomubiri bwebamubuuzizza kye yabadde kwekubagamba nti nnyina yamwokezza.