Amawulire

Ba ma seeka basabye okweyimirirwa

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Kamoga new

Bana ku bantu 18 abaakwatibwa nga bavunaanibwa okubeera emabega w’okutemula abasiraamu basabye okweyimirirwa

Bano nga baluganda kuliko Sheikh Ssiraje Kawooya, Sheikh Rashid Jjingo, Sheikh Abdu Salam Ssekayanja, ne Sheikh Twaha Ssekitto

Nga bayita bannamateeka baabwe aba Sserwadda and Company Advocates bagamba nti ddembe lyaabwe okweyimirirwa era nga tebazzangako musango gwonna okuleka okukyalira munaabwe

Bano nno bavunanibwa wamu n’akulira abatabuliiko e Nakasero Sheikh Muhamad Yunus Kamoga era nga bavunaanibwa misango gya ttemu, butujju, n’okugezaako okutta abantu