Amawulire

Bakansala ba KCCA batabuse lwatteeka lya loodi meeya

Ali Mivule

June 19th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Olukiiko lwa kanso ya KCCA luyiise oluvanyuma lw’abamu ku ba kansala b’amagombolola okutabuka nebanaabwe aba LC 5,

Embeera okuva mu nteeko kiddiridde minisita omubeezi owa Kampala Benny Namugwanya okusomera kanso alipoota ya minisitule ye ku tteeka lya kampala erisala ku buyinza bwa loodi meeya n’okulaba nga talondebwa bannakampala wabula bakansala okerondamu omuntu n’afuuka loodi meeya.

Ba kansala ba KCCA bangodde minisita by’abadde ayogera wakati mu kumukuba olube sso nga bbo abe gombolla nga bwebamuwagira wamu n’okulangira loodi meeya Erias Lukwago obunanfuusi nti era yefaako yekka .

Kino kiwalirizza Lukwago okusazaamu olutuula lwaleero nga embeera etabuse neyesibira mu ofiisi ye