Amawulire

Bannamaggye ababadde bawamba Nkurunziza bakwatiddwa

Ali Mivule

May 15th, 2015

No comments

Burundi army leader

Ba general abasatu abaabadde emabega w’okugezaako okuvuunika gavumenti ye Burundi bakwatiddwa wabula omukulembeze waabwe  Gen Godefroid Niyombare akyekukumye.

Gen Niyombare eyatandise eby’okuvuunika gavumenti ya pierre Nkurunziza ategezezza bannamawulire ba AFP nti batya banditibwa.

Gen Niyombare ategezezza nga bwebewaddeyo eri abali mu buyinza nga era kitegerekese nga Nkurunziza bweyazze dda kubutaka.

Bbo abajaasi 5 batiddwa mu kasambattuka akaabadde mu kibuga kye Bujumbura olunaku lw’eggulo.

Mungeri yeemu abekalakaasi abawakanya ekisanja ekyokusatu ekya Nkurunziza bategezezza nga bwebagenda okusirikiriza okwekalakaasa kuno olunaku lumu bade ku nguudo ku ssande.

Omu ku bakuliddemu okwekalakaasa kuno Pacifique Nininahazwe ategezezza nga ku ssande bwebagenda okusitula buto bekalakaase.

Ye Omukulembeze w’eggwanga lya Burundi Pierre Nkurunziza kyaddaaki ezzewo mu ggwanga lye oluvanyuma lw’olukwe lw’okuvuunika gavumenti ye okugwa obutaka.

Nkurunziza y’azze mu kibuga ekikulu ekya  Bujumbura olunaku lweggulo okusinziira ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Amagye agamukkiririzamu nago gategezezzaq nga ebibuga ebyenkizo bwebibali mu ttaano.