Amawulire

Bannamateeka ba gavumenti becanze

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

Bbo bannamateeka ba gavumenti bali  mu nteekateeka zakuteeka wansi bikola lwamusaala mutono gwebafuna.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta bano  Baxter Bakibinga agamba olwaleero bannamateeka bokka abakolera mu byalo bebatagenda kukola kubanga balina okujja mu lukungaana lwabwe olwenkya okusalawo ku kediimo kaabwe.

Wabula bbonna abali mu kampala balina okugenda mu kkooti okuwoza olwo ku lwokutaano bonna teri kulinya mu kkooti nga bateesa oba bagende mu maaso n’okwediima oba nedda.